Katikkiro akalaatidde abatandisi b'amatendekero agawaggulu okuyigiriza abayizi obuyiiya
Katikkiro Charles Peter Mayiga akalaatidde abatandisi b'amatendekero agawaggulu okuyigiriza abayizi baabwe obuyiiya basobole okulwanyisa ebbula ly’emirimu eririwo ensangi zino. Ono abadde Wakataayi mu town kanso y'e Zirobwe mu disitulikiti y'e Luweero bwabadde aggulawo ettendekero ly’eby’emikono.