Kaliisoliiso wa gav't atandise okunoonyereza ku wofiisi y'eby'ettaka olw'emivuyo egyetyebesemu
Wofiisi ya Kaliisoliiso wa gav’t etandise okunoonyereza ku kitongole ekivunaanizibwa ku kukuuma ettaka lya gav’t kiyitte Uganda Land commision bwekisasula abantu ababa baagala okubaliyirira ab’empewo nga beeyambisa ensawo ya gav’t ey’eby’ettaka eya Land fund. Kiteeberezebwa nti abakungu mu wofiisi eno tebakola bulungi mirimu gyabwe era okunoonyereza kuno bagenda kukwesigamya nyo ku ngeri gav’t gyegulamu ettaka n’okusasula abantu ku ttaka nga kwakumala emyezi 2.