Aba Sacco eyabadde mukifo ekyayidde basobeddwa
Abakyala ababadde batereka ssente mu Sacco eyabadde mukifo ekyayidde omuliro olunaku lw’eggulo e Wandegeya ku Bbiri mu Kampala n’okutuusa kati tebamanyi kyakuzaako.
Ruth Nakakawa eyabadde omuwanika wa Sacco agambibwa okubulankanya ensimbi akyakuumirwa mu kaduukulu ka poliisi nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.