Okufuna ekyojamumiro; akulira akakiiko k’emirimu e Rakai asindikiddwa ku alimanda
Ssentebe w'akaakiko akagaba emirimu gya gavumenti mu disitulikiti ye Rakai David Mpuuga asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 14 omwezi guno oluvannyuma lw'okuggulwako emisango gy'obulibwenguzi. Mpuuga avunaanibwa kufuna kyoja mumiro kya bukadde 20 okusobola okufunira Julius Semyalo omuli mu disitulikiti eno. Kyokka ono emisango agyegaanye.