Okugolola ensobi mu bibalo, UBOS ennyonyodde lwaki yaggye alipoota ku mutimbagano
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo ki Uganda Bureau of Statistics kinnyonnyodde ensonga lwaki kyaggye alipoota yakyo erimu ebyava mu kubala abantu okwakakommerezebwa ku mutimbagano.Bano batubuulidde nti baakizudde nti waliwo ensobi ezaakolebwa ku muwendo gw'abantu b'amawanga ana okuli Abakiga, Abagisu, Abacholi n'aba Lango.Abakulu bano batubuulidde nti eyajjuzaamu emiwendo gino, ate yagitabula n'okubala okwaliwo mu 2014.