EBBANJA LY’EGGWANGA: Ab’ebyensimbi betaaga obuwumbi 25000 okusasulako
Abakulu abavunanyizibwa ku kittavu kye Ggwanga ki treasury operations wansi wa minisitule y'ebyensimbi baagala embalirira ya buwumbi emitwalo ebiri n'ekitundu zino nga zakukozesa okusasula agamu ku mabanja agabanjibwa eggwanga.Bano mu mwaka gwebyensimbi ogujja 2024/25 bagenda kutandika okusasula ababawola okuzimba emabibbiro g'amasanyalaze okuli Isimba, Karuma n'ebitongole ebirala.Minisita omubeezi ow'ebyensimbi agamba nti wadde nga ekitundu kinene ku mbalirira eno kigenda kusasula mabanja, bajja kusobola okutuusa obuwereeza obwenjawulo ku Bannauganda .