Ebbeeyi y’amasannyalaze; akakiiko k’obwenkanya kagyemulugunyizzaako
Kizuuse nti ensonga lwaki bannayuganda bangi bakyalemereddwa okuba n'amasannyalaze ewaka, y'ebbeeyi y'emiti kwegasikirwa gattako ebbeeyi y'okugakozesa ekyali waggulu ddala.Bino bizuuliddwa akakiiko k'obwenkanya ka Eqaul Opportunities Commission, nga bano bategezeezza nti omuti gw'amasannyalaze gumu gugula obubakdde 2 n'ekitundu, ensimbi omuntu asookerwako z'atayinza kusobola.Akakiiko kano era si kasanyufu n'engeri district empya ezatondebwawo bwe ziddukanyizibwa nga bagamba nti ebigendererwa eby'azitekesaawo gavumenti erabika yabyerabira.