Poliisi y’e Kawempe egugumbudde abatuuze abakedde mu mwala gwa Lubigi okugugogola
Poliisi y’e Kawempe eyitiddwa bukubirire okugumbulula abatuuze abakedde mu mwala omunene ogwa Lubigi okugugogola nga bagamba gweguviirako amazzi okwanjala mu nyumba zaabwe. Bano ababadde bakutte ebipande bagamba abakulembeze baabwe balemereddwa okugufaako bbo kwekusitukiramu.