Poliisi e Mbale ekubye amasasi abasajja babiri oluvanyuma lw’okusangibwa n’enyama y’ente enzibe
Poliisi e Mbale ekubye amasasi abasajja babiri ababadde beekukumye mu ngalama y’enyumba oluvanyuma lw’okusangibwa n’enyama y’ente enzibe. Kigambibwa bano babadde beefudde ekizibu ku kyalo mu kubba ente z’abatuuze nga bazisalira mu nyumba eno nga n’olusi bamanyi n’okuleeta emmotoka ennene nebatikka enyama nebatwala. Abasajja bano batwaliddwa biwala ttaka ku kabangali ya poliisi.