KCCA eremeseddwa okuwaayo ekiwandiiko ekiyimiriza ekuzimba ku mwala gwa Nakivubo
Abakulembeze ku kakiiko ka KCCA akavunaanyizibwa ku kuzimbe n’okuteekerateekera e kibuga Kampala balemeseddwa okuwaayo ekiwandiiko ekiyimiriza ekuzimba ku mwala oguyitibwa Jagula ogwawula akatale ka owino n’ekisaawe kya Nakivubo. Bano bagamba nti akakiiko kaakizudde nti Hamis Kiggundu amanyiddwa nga HAM okuzimba ku mwala guno akikola mu bumenyi bw’amateeka, era ng’okugenda maaso n’okuzimba kyandisuula bannakampala mu katyabaga. Yye loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago agamba baakufuna olukusa ebizimbibwa ku mwala guno byona bimenyebwe.