Ebbula ly’emirimu mu bavubuka, abaagenda okukuba ekyeyo bawadde abazadde essanyu
Abazadde mu disitulikiti ye Bushenyi baagala gavumenti eyongere amaanyi kko n’okulungamya enkola y’okutwaala naddala abavubuka okukola e bweru we ggwanga kiyambeko okukendeeza ku bbula ly’e mirimu mu ggwanga.Bagamba nti abavubuka abatono abaakava mu kitundu kino ne bagenda e bunaayira okukola, basobodde okukyusa eby’enfuna by’ekitundu kino.