Wunno Zahara Nyakayisiki yalwala ekizimba ku luba
E Namungoona mu ggombolola y’e Lubaga mu Kampala gyetusanze Zahara Nyakayisiki ow’emyaka 22 ng’atuuyaana n’ekizimba ekyamukwata ku luba nekitwaliramu n’akalevu. Abasawo batubuulidde nti ekirwadde ekitawanya Zahara kiri mu magumba agali mu luba ekimanyiddwa nga Mandibular ameloblastoma. Twogeddeko n’abasawo ne babatutangaza ku kirwadde kino.