Ebigambo bya Muhoozi, ab’omukago gwa bulaaya babituusizza ewa Salim Saleh
Bannabyabufuzi balaze okutya nti omuduumizi w'amagye g'eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba yandiba nga asobola kugambwako mukulembeze wa ggwanga yekka.Bano basinzidde ku bigambo bya munnamagye Gen. Salim Saleh bye yategezeezza abakulu okuva mu kibiina ky'omukago gwa bulaaya nga batusiiza okwemulugunya kwabwe ku ngeri omukulu gye yeyambisaamu omukutu gwa X.Bano Saleh yabasabye okuba abagumu kubanga ebigambo bya Muhoozi ku mukutu gwa X si by'ebiri awo ebitiisa ennyo. Kinajjukirwa nti abantu bangi bazze beemulugunya ku bigambo bya Muhoozi eby'obusagwa ku X so nga n'oluusi ebimu azze abituukiriza, ekitadde eggwanga ku bunkenke.