Ebikolobero bya Kwoyelo, kkooti eragidde gav’t y’eba eriyirira abaakosebwa
Gavumenti ya Uganda ekitegedde nti kati kigikakatako okuliyirira abantu abaakosebwa olutalo lweyalimu n’abayekera ba LRA mu mambuka ga uganda okumala emyaka 20 olw’ebikolebro ebyabatusibwako omusajja Thomas Kwoyero. Okusalawo kuno kukoleddwa omulamuzi w’ekiwayi kya kooti enkulu ekiwozeza bakalintalo abali ku mutendera gw’ensi yonna.Kooti egamba nti omu ku baduumizi ba LRA ab’okuntiko Thomas Kwoyero gwebaakakaliga emyaka 40 ,talina wadde enusu okuliyirira beyakosa, kale nga gavumenti y’erina okwetikka obuvunanyizibwa buno.