Ebintu by’abayizi biweddewo mu muliro e Wamatovu
Mu kiro ekikeesezza enkya ya leero omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi abalenzi ku somero li Wamatovu Islamic Secondary School e Kiringente - Mpigi negusanyawo ebintu by’abayizi byonna ebibaddemu. Bino byabaddewo ku saawa nga bbiri ez’ekiro ng’abaana bali bweru , kyoka nakati ensibuko y’omuliro guno tennamanyika. Poliisi etubuulidde nti ng’ogyeko ebintu okwononeka mpaawo muyizi yafudde wadde okufuna obuvune.