EBYAVA MU KAMYUFU:Okuwulira okwemulugunya ku by’ababaka kukoma nkya
Abakulu ku kakiiko akateekebwawo okuwuliriza okwemuluggunya kw’abeetaba mu kamyufu ka NRM batubuulidde nti enkya lwebatandika okuwa ensala yaabwe eri abo abasooka okweyoleka eri akakiiko kano.Akakiiko kano tukitegedde nti enkya lwekakkomekkereza okuwulira okwemulugunywa kw’abaavuganya ku mutendera gw’ababaka ba palamenti, mu bbanga lino emisango 381 gyonna gyigenda kuba gikoleddwako.