KCCA ejjukizza bannabyabufuzi okugoberera amateeka gokutimba ebipande
Ekitongole ki KCCA kyakusisinkana abakulu mu bibiina by’ebyobufuzi okwongera okubalungamya ku ngeri ebipande by’abeegwanyiza ebifo mu kampala ne ggwanga lyonna gyebirina okutimbibwa.Akulira oludda olw’ekikugu mu KCCA, Sharifa Buzeki agambye nti bannabyabufuzi basusse okutimba ebipande buli webasanze ekintu ekyongedde okukyafuza ekibuga.Bino Buzeki abibuulidde bannamawulire bwabadde KCCA abanjulira ebyo ebyatuukibwakao ekitongole mu mwaka gw’ebyensimbi 2024-2025.