Robert Luggya Kayingo kkooti eragidde aleetebwe nga mulamu oba mufu
Omulamuzi wa Kkooti enkulu Collins Acellam afulumizza ekiragiro ekikaka ebitongole bya gavumenti naddala ebyokwerinda okuleeta Pulezidenti w'ekibiina ki Uganda Federal Alliance Robert Luggya Kayingo oba nga mulamu oba mufu.Luggya Kayingo yabuzibwawo nga 17 omwezi oguwedde bweyali kyajje akomewo kuno okuva mu ggwanga lya South Africa.Okuva olwo abenganda ze bazze beekubira enduulu eri beekikwatako wabula nga buteerere.