OKULONDA KW’AKAMYUFU:Okusimba mu mugongo n’okusunsula kiriwa ekisinga?
Wabaddewo okukubagana empawa mu bannayuganda abagoberera ebyobufuzi ku ndonda y’akamyufu esaanidde okukozesebwa ebibiina.Embeera eno evudde nnyo ku mivuyo egyeyolekedde mu kamyufu ka NRM akaabadde ak’okusimba mu mugongo ke wandilowoozezza nti kandibadde ka bwerufu.Kyokka n’ennonda ey’okusunsula giyite Vetting system ekozesebwa ekibiina ki NUP bangi gyebabadde balowooza nti ya mirembe nayo waliwo abagikubamu ebitulu nga bagamba nti eggyawo eddembe ly’abantu okwerondera omuntu gwe baba baagala .Omusasi waffe Arafat Shafik awayizzaamu n’abalondoola eby’obufuzi okwongera okukuba ttooki mu nnonda zino zombi .