Ebyavudde mu ebigezo bya S4 bitabudde abazadde
Waliwo abazadde mu district y’e Luwero abasabye bannabyanjigiriza n’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ki UNEB okutwala obudde babanyonyole ensengeka y’ebyavudde mu bigezo bya Senior ey’okuna eby’omwaka oguwedde kubanga bbo tebaabitegedde. Abazadde bagamba nti ensengeka y’obubonero eva ku A paka ku E ebabuzaabuza nga tebamanyi bubonero butuufu abaana baabwe bwebaafunye. Kati bano bagamba nti eky’okuba nti abaana bonna abaayise bali mu result 1 nakyo kyaabatabudde. Herbert Kamoga aliko bayogeddeko nabo era eikirawo iri mu mboozi eno.