Eddembe ly’abaana:Eyazaala mu muzibe akwatiddwa
Poliisi mu district ye Kalungu eriko abantu babiri b'ekutte ku bigambibwa nti babadde batulugunya omwana ow'emyezi 8 n'ekigendererwa eky'okwagala okumutta. Kigambibwa nti bano omwana baamuggya ku nnyina aliko obulemu bw'obutalaba oba muzibe mbu nga baagala affe baggyewo akakwate konna n'omukazi ono. Abakwate kuliko Taata w'omwana ne Jjajawe.