Efujjo mu NRM: Abavuganya abalala basisinkaniddwa
Akulira eby’okulonda mu NRM Tanga Odoi ayimirizza omu ku beegwanyiza okukwatira ekibiina bendera e Katikamu South Marvin Mugisha obutaddamu kukuba kampeyini okutuusa nga yennyonnyodeko ku byekuusa n'okubera n'ebivubuka bi kawuula ebikola efujjo ku kitundu. Ono banne bakira bamwemulugunyako nti tabakozeeko fujjo asulayo bbiri kyokka nga ayogerwako tabaddeewo. Akakiiko era kasisikanye ne bannakibiina okuva mu disitulikiti y'e Manafwa.