EKIBUGA FORT PORTAL: Enkulaakulana yeeyongedde, abatuuze ssi bamativu
Ekibuga Fort Portal okuva lwe kyasumusibwa ne kifulibwa e kibuga ky'obulambuzi kati emyaka ena emabega kikula ku misinde.Ba musiga nsimbi bakyettanidde nyo okuzimba mu amayumba ag’omulembe nga kati poloti zaayo zigula busanga.Wabula abantu babulijjo bagamba enjawulo tebanagilaba naddala mu buweereza okujjako ebisale by'emisolo gya bizinesi ebyaalinya.