Ekimotoka ky’amafuta kikutte omuliro e Mityana
Ebyentambula bisannyaladde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala oluvannyuma lw'ekimotoka ky'amafuta okukwata omuliro kukyalo Kikonge ekyesudde kilometere 20 okuva mu tawuni ye Mityana . Kitegeerekese nti ekimotoka kino kibadde kiva Busia nga kyolekera bitundu by'e Mubende.Poliisi enzimya mwoto weetuukidde ng'emmotoka emaze okubengeya.