Ekirwadde kya anthrax kitandise okusattiza ab’e Kyegegwa, omu ye yaakafa, 4 bali ku ndiri
Ab'obuyinza mu disitulikiti ye Kyegegwa bongedde okumyumyula mu biragiro ku bisolo n’ennyama eyingizibwa mu distulikiti eno okusobola okuziyiza okusaasaana kw’ekirwadde ki Anthrax. Kino kiddiridde ab'ebyobulamu mu kitundu kino okukakasa nga bwe wabaluseewo ekirwadde kino oluvannyuma lw’omuntu omu okufa ng'alina obubonero bwonna obwekirwadde kino. Abantu bana be bali ku ndiri olw’ekirwadde kino.