Ekitongole ki UEDCL kyogedde by’ekyakakola mu nnaku 100
Abakulira ekitongole ki UEDCL bagamba nti kati kyebataddeko omulaka kwekukyusa Tranformer zebaasanga zaafa edda,n’okwongera ku bungi bwamasanyalaze mu bitundu abantu gyebeeyongedde Minisita ow’amasanyalaze Ruth Nankabirwa agamba nti mu nnaku 100 UEDCL zeyaakamala nga esikidde UMEME bafubye okulaba nga ekizibu ky’amasanyalaze agavavaako kinogerwa eddagala era nga baliko wevatuuse. Kyoka bagamba nti kati ekikyabamenya bwebanti aagufudde omuzze okubba ebyuma ebitambuza amasanyalaze naddala waya.