EMPAKA Z’AMASOMERO:Ttiimu zitandise okutuuka e Tororo
Ttimu z’amasomero ga siniya zitandise okutuuka mu kibuga Tororo nga zetegekera okwetaba mu mpaka za National Schools Ball games Two ezigibwako akawuwo ku lw’okutano lwa wiiki eno. Bo bannanatamegwa b’empaka za basketball w’abawala aba st Noah girls basimbula ekiro kya leero okwolekera empaka zino n’essuubi nti baakuddamu okuwangula ekikoopo kino nebilala. Amasomero agasukka mu kikumi geegasuubirwa okwetaba mu mpaka zino ezitegekeddwa aba st Peters College ne Tororo girls school.