EMIVUYO MU KUNOONYA OBUWAGIZI: Abeegwanyiza kaadi YA NRM bayitiddwa
Akakiiko k’ekibiina ki NRM akakola ku by’okulonda kaweze abavuganya mu kamyufu k’ekibiina e Isingiro obutaddamu kukuba kampeyini owawamu, kko n’okutikka abawagizi okuva mu kitundu ekimu okubatwala mu kirara. Bino bisaliddwawo mu nsisikano ebaddewo wakati wabavuganya e Isingiro ne Mubende okukaanya butya bwebagenda okumalawo okusika omuguwa mu kakuyege.