Nnamwandu alumiriza mikwano gy’omugenzi okubiremera
Olunaku lw'eggulo, twatandise emboozi y'omukyala Aisha Ibolo, eyali yafumbirwa omunnansi wa Buyindi nebazaala omwana. Nti kyokka omusajja yatemulwa mu ngeri erowoozebwa okuba engenderere era olwali okufa, emmaali ye n'etandika okutindibwa n'okubbibwa nga ye n'omwana gwe yazaala mu mugenzi balekeddwa ebbali. We twakulesse eggulo, ng'omukyala ono azzeemu okufuna empapula ezimukkirizza okuddukanya emmaali y'omugenzi. Katulabe ebyaddirira.