EKKUBO LIBATABUDDE: Waliwo abatuuze abeezoobye ne nnyini ttaka
Minisita w’eby’ettaka Sam Mayanja alagidde poliisi y’e Kassanda ekwate mangu omusajja ayitibwa Moses Madoi, abatuuze ku byalo Kitongo ne Lwenzo mu ggombolola ye Kalwana gwe balumiriza okukijjanyan ngayagala okwezza ettaka lyabwe . Madoi ono yakwatibwako omwaka oguwedde ku nsonga z’ezimu wabula nateebwa nga weyakoma weyatandikira .