Emirimu Eri Bamuzibe:Waliwo abasabye gav’t eteekewo enkola ebayamba okugifuna
Abantu baliko obulemu bw'amaaso batadde gavumenti ku nninga ekole kunsonga y'okuwa abantu abliko obulemu emirimu mu bitongole byayo. Bano bagamba nti newankubadde nga gavumenti ekoze ekisoboka okulaba nga abantu abaliko obulemu benyigira mu kusoma , bakyasanga okusoomoozebwa kungi bwekituuka mu kufuna emirimu. Bino babyogeredde mu ttabamiruka w'abamuzibe n'abaliko obulemu bw'amaaso ayindidde e Mukono .