Engeri y’okuvvuunuka embeera y’okwennyika mu bannakawere | OBULAMU TTOOKE
Ba maama abasinga bagenda mu kwennyika nga baakamala okuzaala olw'embeera eyenjawulo gye bayitamu. Embeera y'okwennyika eno oba Postpartum Depression etera okujja n'obutaagala kulya, kko n'okwekyawa. Kyokka okusinziira ku bali mu gw'okubudaabuda abantu, embeera eno ebeera yakiseera era ng'amaama aba yeetaaga okufiibwako abo abamuli okumpi okusobola okugiyitamu amangu.