Enguudo ezikolebwa mu Kampala zitataaganyizza eby’entambula
Okuva enguudo ez'enjawulo lwe zaatandika okukolebwa n'okuddaabiirizibwa mu kibuga Kampala, embeera y'entambula y'ebidduka ezze agotaana nga kati abasaabaaze kibatwalira obudde bungi okutuuka gye baba bagenda. Kino kivudde ku kalippagano nga buli mugoba wa kidduka ayiiya gy'asalira okuyingira n'okufuluma ekibuga. KCCA etubuulidde nti nayo ebigenda mu maaso tebigisanyusa nga y'ensonga lwaki bakola ekisoboka omwezi Gwokuna wegunatuukira ng'enguudo baziggyeko engalo.