Enguudo mu kampala - KCCA ekoze endagaano okuzimba endala
Waliwo essuubi nti enguudo ezigenda okuzimbibwa mu Kibuga Kampala zaakuyambako okukendeeza ku kalippagano mu kibuga n'okuwonya bannansi okwonoona ebiseera ebingi nga bali ku nguudo. Kino kiddirirdde ekitongole ki KCCA ne Cola okussa emikono ku ndagaano ey'okuzimba enguudo mu ggombolola za Kampala zonna . Project eno etandikiddwa yakuwemmemba kumpi obuwuumbi obusoba mu lukumi.