Enkaayana ku ttaka e Kiryandongo:abatuuze beesaze akajegere ne bekalakaasa
Abatuze okuva ku kyalo kitwara mu disitulikiti ye kiryandongo balaze obutali bumative eri ab’obuyinza bebalumiriza okutaatira abaserikale aba kampuni y’obwnannyini abaakuba abatuuze amasasi mu kavuyo k’okubagoba ku ttaka
Ettaka okuli enkaayana liweza obugazi bwa square mayiro mukaaga, nga lino likaayanirwa abatuuze ne musiga nsimbi, era nga yeyaleeta abakuumi bano.
Omubaka wa pulezidenti e Kiryandongo Dan muganga asabye abatuuze okukakkana kubanga abaakuba abantu amasasi nakati bakyali mu kkomera.