OMUZANNYO GGWA VOLLEY BALL :Nemostars ekubiddwa APR eya Rwanda
Kkiraabu ya Uganda eya Nemostars ekubiddwa APR eya Rwanda obugoba busatu n'ewanduka mu mpaka za kkiraabu zikirimaanyi eza Africa Zone Five Volleyball Club Championships mu basajja ezigenda okukomekkerezebwa olunaku olwenkya e Lugogo.
Bano kati essira baakuliteeka mu mpaka za Africa yonna ez’abasajja ze bagenda okukiikiririramu eggwanga mu April e Libya. Enzannya endala omuli n'ezabakyala zikyagenda mu maaso e Lugogo.