OBULAMU BW’ABATWA: Bagamba eggwanga lyabwe liggwaawo
Eggwanga ly’abantu abamanyiddwa nga Abatwa, lyerimu ku mawanga agasinga obutono, kyoka bano nakati bakyalina obwerariikirivu olwabantu be ggwanga lyabwe okwongera okukendeera buli lukya
Bagamba nti naddala e Bundibugyo waliwo abafunisa abakyala abava mu ggwanga kino e Mbuto,songa abalala naddala abalina akawuka ka mukenenya babasobyako nga basuubira nti kiyinza okubayambako okubawonya akawuka ka mukenenya
Kati bano aba Cross Culture Foundation batandise okubayambako okubazimbira ebisulo batandike n’okusoma.