ENKALU KU TTAKA: Abatuuze bagugulana ne disitulikiti ku bya ttanka y’amazzi
Ku kyalo Kateete mu gombolola ye Kabulassoke e Gomba waliwo abatuuze abatadde abakungu ku disitulikiti eno ku ninga nga babalanga kuteeka ttanka y’amazzi ku ttaka lyabwe awataali kusooka kubeebuzaako. Bano bagamba nti ettaka okwateekebwa ttanka eno lya bajjajjaabwe, kyoka bbo nga abazzukulu tebasooka kutegezebwako wadde okuliyirirwa. Abakulu ku disitulikiti bagamba nti tebalina nteekateeka ya kuliyira bantu bano.