Entalo ku ttaka: Waliwo eyapunta ettaka lya miruka ena
Abantu abali eyo mu maka nga 3000 mu district y'e Kyegegwa basula ku tebuukye olw'abantu abatandise okubatisaatisa bave ku ttaka lyebagamba ntyi lyabwe. Emiruka ena gy'egisulirira okusengulwa okuli ogw'e Kigorani, Migongwe, Mujwambura ne Kisoira, nga gikola obugazi bwa yiika ezisoba mu 1500. Minisita w'eby'ettaka Judith Nabakooba atuseeko mu kitundu kino okulaba bw'ayamba abatuuze.