Enzikiriza ya Buddha mu Uganda ewezezza emyaka 20 bukya etandikawo
Olwaleero enzikiriza ya Budha ewezezza emyaka 20 bukya etandika mu Uganda era nga wabaddewo emikolo eggyenjawulo egikoleddwa ku Kitebe ky’enzikiriza eno ekisangibwa e Ntebe ekiyitibwa Uganda Buddhist Centre. Mu myaka 20 enzikiriza eno gyemaze mu ggwanga, eriko bingi byekoze mu byenjigiriza n’ebyobulamu kko n’obuyonjo. Ku mikolo gino, Omumbejja Diana Teyeggala kwagguliddewo essomero erizimbiddwa ab’enzikiriza eno okwongera ettofaali ku byenjigiriza mu ggwanga nga lituumiddwa African Buddhist High School.