Essaza Buddu ly’anjudde omutendesi wa ttiimu omuggya
Banantameggwa b’empaka z’omupiira gw’Amasaza ga Buganda aba Buddu banjudde Eric Kisuze ng’omutendesi wabwe omuggya .Ono bamuwadde obuvunanyizibwa okulaba nga Buddu yeddiza ekikopo ky’amasaza kye baawangula omwaka oguwedde. Kisuze adidde Simon Ddungu mu bigere eyawangula omwaka oguwedde Ddungu yegase ku saaza ly'eGomba gyebuvuddeko.Kati Kisuze ategezezza nti obuvunanyizibwa obumukwasiddwa abusobola bulungi.