Eyawemula Museveni asobeddwa:Akaabidde mu kkooti neyeetonda
Omuvubuka Nabugodi Emmanuel avunnanibwa ogw'okuwemula omukulembeze w'eggwanga akaabidde amaziga mu kkooti esookerwako e Ntebe bw'abadde asomebwa emisango gye yazza. Ono atuuse n'okulajaanira omulamuzi amusaasiire kubanga ye yali yenoonyeza bagoberezi ku mukutu gwe ogwa Tiktok.
Kigambibwa nti Nabugodi ono bwe yamala okussaayo obutambi bwe obwalimu ebigambo ebitawooma nga asinziira e Wakiso eyo, naddukira ewaabwe e Mbale era ng'eno poliisi gye yamukukunudde. Kyokka Kooti y'emu era evunnaaye abavubuka abalala basatu era lwa kuvvoola mukulu.