Eyazaliibwa maama aliko obulemu obulamu bw’ayitamu bwennyamiza
Waliwo omuwala Patricia Auma ow’emyaka 20 akuze ne jjajjawe kati ow’emyaka 81, oluvannyuma lw’okuba nti nnyina yaggwa akazoole oba okuba n’obulemu ku bwongo omusajja eyamukwata namufunisa olubuto.
Mukiseera kino omuwala ono tamanyi wayinza kutandikira kufuna ssanyu lya taata ate ne jjajja we ssinga ava mu bulamu bw’ensi eno ayolekedde okwongera okusanga okusoomozebwa.
Omuwala ono ayise mubuzibu obutagambika olw’okukula ne nnyina eyagwa akazoole kyokka nga nè jjaajja we amukuzizza mukadde nnyo. Bano bawangaalira ku kyalo Ireda Lumumba ekisangibwa mu kibuga ky’e Li