Gav’t etandise okukola oluguudo lwa Kampiringisa - Mwiri, abatuuze baliko bye bagisabye
Abatuuze be Kampiringisa mu ggombolola ye kamengo mu distirct ye Mpigi bafunye ku kamwenyu, gavumenti bwetandise okukola oluguudo oluva e Kampiringisa okudda mu katawuni ke Mwiira. Okukola oluguudo luno kutandise leero era nga kutongozeddwa minisita omubeezi ow’ebyenguudo Musa Ecweru. Abatuuze mu kitundu kino bakozesezza omukisa guno okwemulugunya ku bbula ly’amasannyalaze mu kitundu kino .