Gav’t eyogedde by’ekyusiizza mu tteeka ku kkooti y’amagye
Gavumenti etegeezezza nga bweteekateeka okuleeta ennongoosereza mu tteeka erirungamya amagye okubaako enkyukakyuka zeekola mu kkooti y'amagye. Kyokka okusinziira ku Minisita w'ebyamawulire Chris Baryomunsi, ennongoosereza zino zakwongera okunyweza obuyinza bwa kkooti z'amagye okuwozesa abantu baabulijjo okwawukana n'ensala ya kkooti ensukkulumu eyanjungulula obuyinza buno gye buvuddeko. Mu nnongoosereza zino mulimu eky'okulaba nga bassentebe b'obukiiko bwa kkooti zino bonna baba n'obuyigirize obwetaagisa mu by’amateeka.