Giigino emivuyo egyali e Kawempe nga bw’egyajja gizimbulukuka
Wakati nga bannakawempe balindirira ekiddako oluvannyuma lw'akakiiko k'ebyokulonda okulangirira Erias Luyimbaazi Nalukoola ku ky'omubaka omulonde owa Kawempe North olwaleero tuzizzaayo akatambi emabega okwetegereze ebyalabikidde mu kulonda kuno okwategekeddwa gavumenti kyokka ekibiina ekiri mu buyinza nekiwakanya ebyakuvuddemu ekyaviiriddeko n’omukulembeze w’eggwanga okuteekawo okunoonyereza okuzuula ekyabadde emabaga w’emivuyo gino.