GORRETI NABWAMI: Abazirakisa bamuwadde ebintu, afunye akamwenyu ku matama
Nnaalongo Gorret Nabwami omukyala gwe twakulaga emabegako eyakakibwa abazadde okufumbirwa ku myaka 14 nga kati abadde amaze emyaka 31 ng’afumbira mu bugubi afunye ku kamwenyumwenyu oluvannyuma lw’okunyumya emboozi ye ku NTV. Ono eriyo abalabi ba NTV abazze bamuwa eby’okulya n’ensimbi enkalu okuli ne Maama Fiina amusasulidde ebbanja erisoba mu bukadde obubiri n’amuwa n’ensimbi okwongera okwekolera. Patrick Ssenyondo y’alina emboozi eno.