John Bosco Ngorok :Agambibwa okuttibwa faaza azikiiddwa
John Bosco Ngorok agambibwa okuttibwa Fr. Dominic Alinga oluvannyuma lw'entabwe eyava ku bbanja wakati w'ababiri aziikiddwa olwaleero mu kitundu gy'asibuka e Nakapiripirit. David KASIMA akiikiridde kamiisona avunaanyizibwa ku misolo egikungaanyizibwa mu ggwanga mu kitongole kya URA atenderezza omugenzi nga omukwasi w’obudde ate omusajja abadde atya Katonda. Asabye abatuuze obutawoolera ggwanga olw’enfa ya Ngorok kyokka n’asaba gavumenti efube okulaba nga wabaawo obwenkanya.