Kabaka alambudde ettaka eririko enkaayana e Kaazi
Ssabajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Ow'okubiri olwaleero asiimye n'alambula ku ttaka lya Kaazi okulaba embeera gyeririmu n'ebikolebwako. Ettaka lino lirudde nga liriko enkaayana na ddala ekitundu ekikozesebwa aba scout, nga waliwo ababadde baaliyingirira nga balikaayanira. Kabaka asiimye abo bonna abakoze obutaweera okukakasa ng'ettaka ly'obwakabaka teritwalibwa ngeri eyo era n'asaba buli gwekikwataako ayongeremu amaanyi mu kulwanirira ettaka lino.