Kagina leero awaddeyo alipoota z’ebikoleddwa UNRA eri minisitule
Abadde akulira ekitongole ky'ebyenguudo ki Uganda National Roads Authority, azzizzaayo obuyinza bw'ekitongole kino eri minisitule evunaanyizibw aku byentambula n'emirimu . Kagina agamba mumativu n'emirimu egikoleddwa ekitongole kino mu kiseera wakikulemberedde. Ono ne banne bwe babadde bakwasaganya emirimu mu kitongole kino bawaddeyo alipoota eziraga emirimu gye bakoze mpozi n'egyo egikyakandaaliridde eri minisita omubeezi ow'ebyenguudo Musa Ecweru.